To provide the best experiences, we use technologies like cookies to store and/or access device information. Consenting to these technologies will allow us to process data such as browsing behavior or unique IDs on this site. Not consenting or withdrawing consent, may adversely affect certain features and functions.
The technical storage or access is strictly necessary for the legitimate purpose of enabling the use of a specific service explicitly requested by the subscriber or user, or for the sole purpose of carrying out the transmission of a communication over an electronic communications network.
The technical storage or access is necessary for the legitimate purpose of storing preferences that are not requested by the subscriber or user.
The technical storage or access that is used exclusively for statistical purposes.
The technical storage or access that is used exclusively for anonymous statistical purposes. Without a subpoena, voluntary compliance on the part of your Internet Service Provider, or additional records from a third party, information stored or retrieved for this purpose alone cannot usually be used to identify you.
The technical storage or access is required to create user profiles to send advertising, or to track the user on a website or across several websites for similar marketing purposes.
ENNYINGO MU LUGANDA
Obugambo obuzikulembera
MU MAASO G’EKIKOLO KYAZO
“ndi“. Kyanjulwa nti “ndi” kasaana kalowoozebwe nga tense prefix,bwe katyo kayungibwe:
nandigenze
twandigenze
sandigenze
tetwandigenze
wandigenze
mwandigenze
tewandigenze
temwandigenze
yandigenze
bandigenze
teyandigenze
tebandigenze
“ka“. Kyanjulwa nti “ka” nako kalowoozebwe nti tense prefix era nako kayungibwe:
……..naakajja, etc.
“ga“. Kyanjulwa nti “ga” kasaana kayungibwe ku kikolo kya verb eddirira:
mmaze gakikola,
tumaze gakikola,
kimala galya.
“jja“. Kyanjulwa nti “jja” kalowoozebwe nti auxiliary verb (verb ennyambi), bwe katyo kayungibwe:-
n(ni)ja kugenda
sijja kugenda
ojja kugenda
tojja kugenda
ajja kugenda
tajja kugenda, n’ebirala.
Obugambo obukulembera
MU MAASO GA SUBJECT PREFIX
“ne”. Kyanjulwa nti “ne” kasaana kawandiikibwe kokka nga kakulembedde ebikolo bya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo ekyo bwe kisookako empeerezi:
Ebyokulabirako:
ne ndaba
n’olaba
n’alaba
ne tulaba
ne mulaba
ne balaba
(mmaze) ne sigenda
n’otagenda
ne tutagenda
“nga“. Kyanjulwa nti “nga” kasaana kawandiikibwe kokka bwe kakulembera ebikolo bya verb era apostrophe yeeyambisibwe ebikolo bwe bisookako empeerezi:
Ebyokulabirako:
nga ndaba
nga siraba
ng’olaba
nga tolaba
ng’alaba nga talaba
nga tulaba
nga tetulaba
nga mulaba
nga temulaba
nga balaba
nga tebalaba
“ka“. Kyanjulwa nti “ka” kasaana kawandiikibwe kokka bwe kakulembera ebikolo bya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwekisookako empeerezi:-
Ebyokulabirako:
ka ndabe
k’olabe
ka tulabe
k’alabe
ka mulabe
k’ojje olabe
ka balabe
k’ajje alabe
ka nzije ndabe, etc.
“kye“. Kyanjulwa nti “kye” kasaana kayungibwe ku verb gye kakulembedde (awatali kweyambisa apostrophe):-
Ebyokulabirako:
kyenva nzija
kyenje njije
kyajje ajje
kyetujje tujje
kyemujje mujje
kyebajje bajje
Object Relative. Kyanjulwa nti object relative (era ne relative y’ekifo n’ekiseera) byawulwe okuva ku kikolo kya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwe kisookako empeerezi:-
Ebyokulabirako:
kye ndaba
ky’olaba
ky’alaba
kye tulaba
kye mulaba
kye balaba.
ku lunaku kwe ndituukira
ku lunaku kw’olituukira
ku lunaku kw’alituukira
ku lunaku lw’alituukirako
Copula. Kyanjulwa nti copula esaana eyawulwe okuva ku kikolo kya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwe kisookako empeerezi:
Ebyokulabirako:
(ekiso) kye kisala (the knife it is which cuts)
(abasajja) be bagenda (the men it is who go)
bwe ntyo
bwe tutyo
bwe mutyo
bwe batyo
gye ndi (here I am)
gye tuli
gy’oli
gy’ali
gye muli
gye bali.
Verbs – obugambo obuziddirira
“nga”. Kyanjulwa nti akagambo kano kasaana kayungibwe ku verb ekakulembera (awatali kweyambisa apostrophe):
Ebyokulabirako:
tugendanga
nninga (I am as though
olinga
tulinga
mulinga
balinga
Kyanjulwa nti “nga” ekungiriza ereme kuyungibwa ku kigambo kyonna ekiba kigiddiridde (oba ky’eba ekulembedde):-
Ebyokulabirako: nga ndabye!
nga tulabye!
nga olabye!
nga mulabye!
nga alabye!
nga balabye!
verbs – Obugambo obuziddirira
“yo”, “wo”, “ko”, “mu”. Kyanjulwa nti obugambo buno busaana kuyungibwa ku verb gye buddirira, era obuwanvu bw’empeerezi tebusaana kwerabirwa:-
Ebyokulabirako:
taliiyo,
nvaawo,
nfumbako,
tetwalimu.
Kino kikwata ne ku bigambo ebiva mu verb:-Ebyokulabirako:
ndabirwamu (mirror)
ekyokulabirako (example).
WEETEGEREZE: Tekyetaaga kwoleka buwanvu bwa mpeerezi obusisinkanibwa nga ennukuta “w” ne “y” zeegasse ne zinnaazo endala (consonants). Laba etteeka
“wa? “, “ki? “. Kyanjulwa nti obugambo buno tebusaana kuyungibwa ku verb gye buddirira:-
Ebyokulabirako:
ogenda wa?
olya ki?
ogenze wa?
olidde ki?
kiri wa (kiri ludda wa?)
Ekyawukanako (kyewaggula):
“kiruwa” n’ebikifaanana, bwe kiba kye kikozesebbwa mu kifo kya “kiri wa” n’ebikifaanana.
NOUNS – Obugambo obuzikulembera
EBIGAMBO
Noun qualifiers (ebigambo ebitegeeza noun) nga “bino”, “bonna”, n’ebirala bwe biba bigikulembedde, bisaana biwandiikibwe byokka:Ebyokulabirako:
bino ebintu
bali abantu
bonna abasajja.
Era kyanjulwa nti “buli“, “nguli“, “wali“, ne “wasiga” n’ebirala ebibifaanana, bisaana byawulwe okuva ku bigambo bye bikulembera:-
Ebyokulabirako:
nguli Zimbe
buli muntu
buli w’olaba
buli kanaku
buli wantu
buli kiro
buli ngeri (yonna).
OBUGAMBO (PARTICLES)
Locatives “e”, “wa”, “ku”, “mu”. Kyanjulwa nti locatives mu ngeri eya bulijjo buwandiikibwe nga bwawuddwa ku bigambo bye bukulembera:Ebyokulabirako:
e Kampala
e Buganda
ku Mpigi
mu eno
mu nnyumba
kino kikwata ku buli muntu
kino kikwata ku buli musajja
ku bino ebintu ……
ku ffe, ku bo, mu ffe, mu bo.
w’eno, w’eri
Ebyawukanako (kyewaggula):
e
ewaffe
ewaakyo
ewammwe
engulu
ewaabakyo
emabega
emmanga
ebweru
ennyuma
emugga
wa
waggulu
wabbali
wamberi
walala
emabega (wange)
ku
kubbali
kungulu
kuli
kuno
mu
muno
mumpi
(munda) mugazi
Genitive. Kyanjulwa nti genitive, mu ngeri eya bulijjo, esaana eyawulibwenga okuva ku kigambo ky’ekulembera, era apostrophe yeeyambisibwe ekigambo bwe kitandika n’empeerezi:-Ebyokulabirako:
Obwannannyini:-
ebintu bya Petero
abaana ba Katikkiro
omwana w’omuntu
mwana wa muntu
ebintu bya buli muntu
ebya Petero
aba Katikkiro
w’omuntu
olw’omulimu.
Nga Adjective:-
(omuntu) ow’ekyeewuunyo
(omuntu) ow’obusungu
(omuntu) ow’obulungi
(omuntu) ow’endali
(omuntu) ow’essanyu
(omuntu) ow’ennaku
(omuntu) ow’ebbango
(omuntu) ow’ettima
(omuntu) ow’engalo
(oluggi) olw’omuti
(ettaka) ery’enjazi
(engoye) ez’ekirangira
(muntu) wa kyewuunyo
(muntu) wa busungu
(ttaka) lya njazi
(muntu) wa ngalo
(muntu) wa kabi
(muntu) wa lugono
(muntu) wa ddalu
(muntu) wa nge (sullen)
(muntu) wa kacca
Nga ekulembedde verb:
olw’okujjukira,
amazzi ag’okunaaba,
lwa kujooga (for bullying) n’ebirala.
Nga eri wamu n’ebyokubala:-
eky’olubereberye,
eky’okubiri, n’ebirala.
Nga eri ne Adverb:-
lwa kubanga,
kya nsonga,
kya mazima (it is true),
kya ddala (it is so),
kya bwereere (it is gratis; it is superfluous),
kya mukisa (fortunately, it is luck),
lwa kisa (out of kindness),
olw’ekisa,
lwa bulungi,
lwa kitiibwa.
Ebibyawukanako (kyewaggula):
AMANNYA (Proper ne Common)
Obwakabaka
Oweekitiibwa
Owoomuluka
Owessaza
Oweggombolola
obwannannyini
obwetoowaze
ekyennyanja
ebyendya
ekyendya
ekyemisana
ekyeggulo
ekyekiro
Kino kikwata ne ku ngeri egaana:
sirabye Waakitiibwa,
siridde kyakiro.
Nga eri ne Pronouns[11]:-
kyange, etc.
ekyaboffe,
abaaboffe;
ekyabommwe,
abaabommwe
ekyaboobwe,
abaaboobwe.
Nouns ezimu eziva mu verbs:
Ebyokulabirako:
ebyokulya, ebyokunywa, ebyokunaaba.
Ennaku za sabbiiti (wiiki):
Olwokusooka, Lwakusooka
Olwokubiri, Lwakubiri
Olwokusatu, Lwakusatu
Olwokuna, Lwakuna
Olwokutaano, Lwakutaano
Olwomukaaga, Lwamukaaga.
Adverbs ezimu:
Olwekyo, lwaki, newankubadde (newaakubadde), oboolyawo.
Genitive ne Locative. Kyanjulwa nti genitive nayo ewandiikibwe yokka (ne apostrophe buli we yeetaagirwa), bw’ekulembera locative:-
e
bw’e Buganda, ow’ewaffe, ow’emabega, ow’ewala, ow’eggulu.
wa
ekya wansi, ekya waggulu, ekya wali, owa wamberi, owa waggulu, ow’awo.
ku
ez’oku nsozi, ab’oku mwanjo, NAYE eby’okungulu.
mu
ab’omu nsi, ez’omu nnyanja, ab’omu maaso, ow’omunda.
“ne“, “na“. Kyanjulwa nti “ne” ne “na” bwawulibwe okuva ku kigambo kye bukulembera (apostrophe yeeyambisibwe we yeetaagirwa):-
ne Yokaana, n’omuntu, n’abantu, na muntu, na bantu, n’akatono, n’akamu.
Ebiyawukanako (kyewaggula):-
naye, nabo, munnakampala, etc.,
naddala, nagunogujwa, nazikuno, nakuno, nandiki (nantiki), sinakindi.
“nga“. Kyanjulwa nti “nga” kasaana kwawulibwa okuva ku kigambo kye kakulembera (apostrophe yeeyambisibwe we yeetaagirwa):-
nga Yokaana, nga bo, nga kkumi, ng’abantu, ng’abiri.
“kye“. Kyanjulwa nti “kye” kisaana kigattibwe mu kyenkana.
Copula. Kyanjulwa nti copula esaana eyawulibwe okuva ku noun gy’ekulembera:-
kye kintu, bye bintu, ye muntu, be basajja, kye kimu, kye kiikyo, bye biibyo, etc.
ye nze, ye ggwe, ye ye, be baffe, be bammwe, be (baa) bo.
Ebikyawukanako (kyewaggula):-
kyekiikyo (certainly)
weewaawo (perhaps).
NOUNS: obugambo obuziddirira
Obwannannyini obwa 1st ne 2nd person. Kyanjulwa nti obwannannyini mu 1st ne 2nd person busaana bwawulwe:-
abako bo, abako be, abantu bo, abantu be.
Obwannannyini obulala – ne “ki”. Kyanjulwa nti obwannannyini obulala ne “ki” nabwo busaana bwawulwe.
“yo“, “wo“, “ko“, “mu“. Kyanjulwa nti obugambo buno busaana kuyungibwa ku nouns ne adjectives bwe ziddirira:-
kibiibiimu (fairly bad), bulungiko (fairly good).
Ebigambo ebigattiikirize. Kyanjulwa nti ebigambo eby’engeri eno bisaana kuwandiikibwa nga biri wamu:-
ebigambo: mulundante, magulumpaali, mulyammamba.
amannya: Kitikyamuwogo, Nnyamayaalwo, Aliddeki, Nnyanjeradde, Kalyabulo, etc.
Ebigambo ebiddirinng’ana. Kyanjulwa nti ebigambo eby’engeri eno bisaana kuwandiikibwa nga biri wamu:-
okukubaakuba,
okumagamaga,
okumenyaamenya,
okutwalatwala,
okusambasamba,
okumaalamaala,
okufuulafuula, etc.
Amannya gano wammanga gakkirizibbwa okukozesebwanga:-
Obubonero bwonna obukozesebwa mu kuwandiika (punctuation marks) busigazza amannya g’Olungereza. Enkozesa yaabwo erikakasibwa Akakiiko ak’olubeerera akajja okulondebwa oluvannyuma.
Obubonero obwo kati bulina amannya gano mu Luganda:
Fullstop = akafundikizi;
comma = akawummuza;
quesion mark = akabuuza;
exclamation mark = akeewuunyi oba akakungirizi;
colon = kanjuzi;
semi colon = kamenyi;
apostrophe = akasukkize;
asterik = akazimirizo;
dash = akasale;
slash = akasaze;
quotation/inverted commas = obuwummuza obusulike;
brackets = obukomera;
addition mark = akagatta;
subtraction mark = akaawula/akatoolako;
division mark = akagabi.