• LOGIN
  • No products in the cart.

LGA1/5 ENNYINGO MU LUGANDA

Unit eno ennyonnyola buli kimu ekikwata ku nnyingo mu Luganda

 ENNYINGO MU LUGANDA

Obugambo obuzikulembera

MU MAASO G’EKIKOLO KYAZO

ndi“. Kyanjulwa nti “ndi” kasaana kalowoozebwe nga tense prefix,bwe katyo kayungibwe:

nandigenze

twandigenze

sandigenze

tetwandigenze

wandigenze

mwandigenze

tewandigenze

temwandigenze

yandigenze

bandigenze

teyandigenze

tebandigenze

ka“. Kyanjulwa nti “ka” nako kalowoozebwe nti tense prefix era nako kayungibwe:

……..naakajja, etc.

ga“. Kyanjulwa nti “ga” kasaana kayungibwe ku kikolo kya verb eddirira:

mmaze gakikola,

tumaze gakikola,

kimala galya.

jja“. Kyanjulwa nti “jja” kalowoozebwe nti auxiliary verb (verb ennyambi), bwe katyo kayungibwe:-

n(ni)ja kugenda

sijja kugenda

ojja kugenda

tojja kugenda

ajja kugenda

tajja kugenda, n’ebirala.

Obugambo obukulembera

MU MAASO GA SUBJECT PREFIX

“ne”. Kyanjulwa nti “ne” kasaana kawandiikibwe kokka nga kakulembedde ebikolo bya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo ekyo bwe kisookako empeerezi:
Ebyokulabirako:

ne ndaba

n’olaba

n’alaba

ne tulaba

ne mulaba

ne balaba

(mmaze) ne sigenda

n’otagenda

ne tutagenda

nga“. Kyanjulwa nti “nga” kasaana kawandiikibwe kokka bwe kakulembera ebikolo bya verb era apostrophe yeeyambisibwe ebikolo bwe bisookako empeerezi:

Ebyokulabirako:

nga ndaba

nga siraba

ng’olaba

nga tolaba

ng’alaba nga talaba

nga tulaba

nga tetulaba

nga mulaba

nga temulaba

nga balaba

nga tebalaba

ka“. Kyanjulwa nti “ka” kasaana kawandiikibwe kokka bwe kakulembera ebikolo bya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwekisookako empeerezi:-

Ebyokulabirako:

ka ndabe

k’olabe

ka tulabe

k’alabe

ka mulabe

k’ojje olabe

ka balabe

k’ajje alabe

ka nzije ndabe, etc.

kye“. Kyanjulwa nti “kye” kasaana kayungibwe ku verb gye kakulembedde (awatali kweyambisa apostrophe):-

Ebyokulabirako:

kyenva nzija

kyenje njije

kyajje ajje

kyetujje tujje

kyemujje mujje

kyebajje bajje

Object Relative. Kyanjulwa nti object relative (era ne relative y’ekifo n’ekiseera) byawulwe okuva ku kikolo kya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwe kisookako empeerezi:-

Ebyokulabirako:

kye ndaba

ky’olaba

ky’alaba

kye tulaba

kye mulaba

kye balaba.

ku lunaku kwe ndituukira

ku lunaku kw’olituukira

ku lunaku kw’alituukira

ku lunaku lw’alituukirako

Copula. Kyanjulwa nti copula esaana eyawulwe okuva ku kikolo kya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwe kisookako empeerezi:

Ebyokulabirako:

(ekiso) kye kisala (the knife it is which cuts)

(abasajja) be bagenda (the men it is who go)

bwe ntyo

bwe tutyo

bwe mutyo

bwe batyo

gye ndi (here I am)

gye tuli

gy’oli

gy’ali

gye muli

gye bali.

Verbs – obugambo obuziddirira

“nga”. Kyanjulwa nti akagambo kano kasaana kayungibwe ku verb ekakulembera (awatali kweyambisa apostrophe):
Ebyokulabirako:

tugendanga

nninga (I am as though

olinga

tulinga

mulinga

balinga

Kyanjulwa nti “nga” ekungiriza ereme kuyungibwa ku kigambo kyonna ekiba kigiddiridde (oba ky’eba ekulembedde):-

Ebyokulabirako: nga ndabye!

nga tulabye!

nga olabye!

nga mulabye!

nga alabye!

nga balabye!

verbs – Obugambo obuziddirira

“yo”, “wo”, “ko”, “mu”. Kyanjulwa nti obugambo buno busaana kuyungibwa ku verb gye buddirira, era obuwanvu bw’empeerezi tebusaana kwerabirwa:-
Ebyokulabirako:

taliiyo,

nvaawo,

nfumbako,

tetwalimu.

Kino kikwata ne ku bigambo ebiva mu verb:-Ebyokulabirako:

ndabirwamu (mirror)

ekyokulabirako (example).

WEETEGEREZE: Tekyetaaga kwoleka buwanvu bwa mpeerezi obusisinkanibwa nga ennukuta “w” ne “y” zeegasse ne zinnaazo endala (consonants). Laba etteeka

wa? “, “ki? “. Kyanjulwa nti obugambo buno tebusaana kuyungibwa ku verb gye buddirira:-

Ebyokulabirako:

ogenda wa?

olya ki?

ogenze wa?

olidde ki?

kiri wa (kiri ludda wa?)

Ekyawukanako (kyewaggula):

“kiruwa” n’ebikifaanana, bwe kiba kye kikozesebbwa mu kifo kya “kiri wa” n’ebikifaanana.

NOUNS – Obugambo obuzikulembera

EBIGAMBO

Noun qualifiers (ebigambo ebitegeeza noun) nga “bino”, “bonna”, n’ebirala bwe biba bigikulembedde, bisaana biwandiikibwe byokka:Ebyokulabirako:

bino ebintu

bali abantu

bonna abasajja.

Era kyanjulwa nti “buli“, “nguli“, “wali“, ne “wasiga” n’ebirala ebibifaanana, bisaana byawulwe okuva ku bigambo bye bikulembera:-

Ebyokulabirako:

nguli Zimbe

buli muntu

buli w’olaba

buli kanaku

buli wantu

buli kiro

buli ngeri (yonna).

OBUGAMBO (PARTICLES)

Locatives “e”, “wa”, “ku”, “mu”. Kyanjulwa nti locatives mu ngeri eya bulijjo buwandiikibwe nga bwawuddwa ku bigambo bye bukulembera:Ebyokulabirako:

e Kampala

e Buganda

ku Mpigi

mu eno

mu nnyumba

kino kikwata ku buli muntu

kino kikwata ku buli musajja

ku bino ebintu ……

ku ffe, ku bo, mu ffe, mu bo.

w’eno, w’eri

Ebyawukanako (kyewaggula):
e

ewaffe

ewaakyo

ewammwe

engulu

ewaabakyo

emabega

emmanga

ebweru

ennyuma

emugga

wa

waggulu

wabbali

wamberi

walala

emabega (wange)

ku

kubbali

kungulu

kuli

kuno

mu

muno

mumpi

(munda) mugazi

Genitive. Kyanjulwa nti genitive, mu ngeri eya bulijjo, esaana eyawulibwenga okuva ku kigambo ky’ekulembera, era apostrophe yeeyambisibwe ekigambo bwe kitandika n’empeerezi:-Ebyokulabirako:

Obwannannyini:-

ebintu bya Petero

abaana ba Katikkiro

omwana w’omuntu

mwana wa muntu

ebintu bya buli muntu

ebya Petero

aba Katikkiro

w’omuntu

olw’omulimu.

Nga Adjective:-

(omuntu) ow’ekyeewuunyo

(omuntu) ow’obusungu

(omuntu) ow’obulungi

(omuntu) ow’endali

(omuntu) ow’essanyu

(omuntu) ow’ennaku

(omuntu) ow’ebbango

(omuntu) ow’ettima

(omuntu) ow’engalo

(oluggi) olw’omuti

(ettaka) ery’enjazi

(engoye) ez’ekirangira

(muntu) wa kyewuunyo

(muntu) wa busungu

(ttaka) lya njazi

(muntu) wa ngalo

(muntu) wa kabi

(muntu) wa lugono

(muntu) wa ddalu

(muntu) wa nge (sullen)

(muntu) wa kacca

Nga ekulembedde verb:

olw’okujjukira,

amazzi ag’okunaaba,

lwa kujooga (for bullying) n’ebirala.

Nga eri wamu n’ebyokubala:-

eky’olubereberye,

eky’okubiri, n’ebirala.

Nga eri ne Adverb:-

lwa kubanga,

kya nsonga,

kya mazima (it is true),

kya ddala (it is so),

kya bwereere (it is gratis; it is superfluous),

kya mukisa (fortunately, it is luck),

lwa kisa (out of kindness),

olw’ekisa,

lwa bulungi,

lwa kitiibwa.

Ebibyawukanako (kyewaggula):

AMANNYA (Proper ne Common)

Obwakabaka

Oweekitiibwa

Owoomuluka

Owessaza

Oweggombolola

obwannannyini

obwetoowaze

ekyennyanja

ebyendya

ekyendya

ekyemisana

ekyeggulo

ekyekiro

Kino kikwata ne ku ngeri egaana:

sirabye Waakitiibwa,

siridde kyakiro.

Nga eri ne Pronouns[11]:-

kyange, etc.

ekyaboffe,

abaaboffe;

ekyabommwe,

abaabommwe

ekyaboobwe,

abaaboobwe.

Nouns ezimu eziva mu verbs:
Ebyokulabirako:

ebyokulya, ebyokunywa, ebyokunaaba.

Ennaku za sabbiiti (wiiki):

Olwokusooka, Lwakusooka

Olwokubiri, Lwakubiri

Olwokusatu, Lwakusatu

Olwokuna, Lwakuna

Olwokutaano, Lwakutaano

Olwomukaaga, Lwamukaaga.

Adverbs ezimu:

Olwekyo, lwaki, newankubadde (newaakubadde), oboolyawo.

Genitive ne Locative. Kyanjulwa nti genitive nayo ewandiikibwe yokka (ne apostrophe buli we yeetaagirwa), bw’ekulembera locative:-

e
bw’e Buganda, ow’ewaffe, ow’emabega, ow’ewala, ow’eggulu.

wa
ekya wansi, ekya waggulu, ekya wali, owa wamberi, owa waggulu, ow’awo.

ku
ez’oku nsozi, ab’oku mwanjo, NAYE eby’okungulu.

mu
ab’omu nsi, ez’omu nnyanja, ab’omu maaso, ow’omunda.

ne“, “na“. Kyanjulwa nti “ne” ne “na” bwawulibwe okuva ku kigambo kye bukulembera (apostrophe yeeyambisibwe we yeetaagirwa):-

ne Yokaana, n’omuntu, n’abantu, na muntu, na bantu, n’akatono, n’akamu.

Ebiyawukanako (kyewaggula):-

naye, nabo, munnakampala, etc.,
naddala, nagunogujwa, nazikuno, nakuno, nandiki (nantiki), sinakindi.

nga“. Kyanjulwa nti “nga” kasaana kwawulibwa okuva ku kigambo kye kakulembera (apostrophe yeeyambisibwe we yeetaagirwa):-

nga Yokaana, nga bo, nga kkumi, ng’abantu, ng’abiri.

kye“. Kyanjulwa nti “kye” kisaana kigattibwe mu kyenkana.

Copula. Kyanjulwa nti copula esaana eyawulibwe okuva ku noun gy’ekulembera:-

kye kintu, bye bintu, ye muntu, be basajja, kye kimu, kye kiikyo, bye biibyo, etc.

ye nze, ye ggwe, ye ye, be baffe, be bammwe, be (baa) bo.

Ebikyawukanako (kyewaggula):-

kyekiikyo (certainly)

weewaawo (perhaps).

NOUNS: obugambo obuziddirira

Obwannannyini obwa 1st ne 2nd person. Kyanjulwa nti obwannannyini mu 1st ne 2nd person busaana bwawulwe:-

abako bo, abako be, abantu bo, abantu be.

Obwannannyini obulala – ne “ki”. Kyanjulwa nti obwannannyini obulala ne “ki” nabwo busaana bwawulwe.

yo“, “wo“, “ko“, “mu“. Kyanjulwa nti obugambo buno busaana kuyungibwa ku nouns ne adjectives bwe ziddirira:-

kibiibiimu (fairly bad), bulungiko (fairly good).

Ebigambo ebigattiikirize. Kyanjulwa nti ebigambo eby’engeri eno bisaana kuwandiikibwa nga biri wamu:-

ebigambo: mulundante, magulumpaali, mulyammamba.

amannya: Kitikyamuwogo, Nnyamayaalwo, Aliddeki, Nnyanjeradde, Kalyabulo, etc.

Ebigambo ebiddirinng’ana. Kyanjulwa nti ebigambo eby’engeri eno bisaana kuwandiikibwa nga biri wamu:-

okukubaakuba,

okumagamaga,

okumenyaamenya,

okutwalatwala,

okusambasamba,

okumaalamaala,

okufuulafuula, etc.

Amannya gano wammanga gakkirizibbwa okukozesebwanga:-

Obubonero bwonna obukozesebwa mu kuwandiika (punctuation marks) busigazza amannya g’Olungereza. Enkozesa yaabwo erikakasibwa Akakiiko ak’olubeerera akajja okulondebwa oluvannyuma.

Obubonero obwo kati bulina amannya gano mu Luganda:

Fullstop = akafundikizi;

comma = akawummuza;

quesion mark = akabuuza;

exclamation mark = akeewuunyi oba akakungirizi;

colon = kanjuzi;

semi colon = kamenyi;

apostrophe = akasukkize;

asterik = akazimirizo;

dash = akasale;

slash = akasaze;

quotation/inverted commas = obuwummuza obusulike;

brackets = obukomera;

addition mark = akagatta;

subtraction mark = akaawula/akatoolako;

division mark = akagabi.

 

 

Courses

Featured Downloads